Bwiino ki gwe tukozesa ?
Omulwadde bwe yetaba mu pulogulaamu ya MAS , tukugaanya, ne tusigaza era ne tukozesa bwiino ono wammanga;
- Erinnya lyo;
- Ekikula kyo;
- Ennaku z’omwezi zewazaalibwaako;
- Ennamba z’essimu;
- Yimeyilo yo;
- W’osangibwa;
- Eddwaliro n’omusawo gy’ofunira eddagala;
- Ennyigiza yo oba eby’enfuna byo(bwe biba byetaagisa); ne
- Engeri y’okutuukirira akuwa obuyambi( bwe kiba kyetagisa)
(awamu byonna “bwiino w’ebikukwatako”)
Okusobozesa ffe okukuwa obuwagizi n’okulabirirwa okumala , tujja kukozesa bwino ow’amaanyi ono wammanga:
Obulwadde obwakuzuliddwaamu
- Ennaku z’omwezi obulwadde bwe bwakuzuulibwaamu
- Obujjanjjabi bwofuna
- Ennaku z’omwezi okukeberwa kw’obuwuka obusirikitu lwe kwakolebwa ne alizaati z’okukeberwa ya PCR.
(awamu byonna “bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi”)
Tutya era lwaaki tukozesa bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi ?
Tukungaanya bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi okuva ku ggwe kennyini, akulabirila ne / omusawo wo bw’osaba okwetaba mu zimu ku pulogulaamu zaffe ng’omulwadde. Tukozesa bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi olw’ensonga zino wammanga:
- Okukutegeera
- Okwogera naawe
- Okukuwa obuwagizi n’obuyambi bw’abalwadde
- Okugaba bwiino akwata ku ndwadde yo oba obujjanjjabi
- Okutusobozesa okugoberera ebitusuubirwaamu wansi wa mateeka gonna n’ebiragiro
- Ensonga zonna endala ezikwatagana ku nzirukanya n’obulembeze bwa pulogulaamu ( awamu byonna “ensonga”)
Tuyinza okukozesa bwiino wo mu ngeri eteraga nti yeggwe mu biwandiko ebisomwa abantu bonna. Kino kitegeeza nti bwiino yenna ayinza okulaga ebikukwatako(okugeza, erinnya lyo, ennaku z’omwezi zewazaalibwako, w’osangibwa) ajja kujjibwako era tewali ajja kusobola kutegeera bwiino oyo nti wuwo.
Ani ajja okumanya ku bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikwatako eby’amaanyi ?
bwiino w’ebikukwatako ne /oba bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi tuyinza okumuwa :
- ebikonge mu The Max Foundation; ne
- ekitongole ekikwasisa amateeka oba ekitongole kya gavumenti bwekiba nga kyetagisa mu mateeka
bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi nabyo biterekebwa butiribiri mu kugganyizo lya’bwiino ku kompyuta mu United States.
Tetujja kuwa bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi muntu mulala yenna nga tokirizza. Tujja kukuuma bwiino w’ebikukwatako ne / bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi era tukakase nti biterekeddwa bulungi.
Biki ebivaamu singa tokiriziganya na kukozesa bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi ?
Bwotokkiriziganya na kukozesa bwiino w’ebikukwatako ne bwiino w’ebikukwatako eby’amaanyi mu kiwandiiko kino ekya bwiino w’ebikukwatako, oyinza obutasobola kwetaba mu pulogulaamu za The Max Foundation
Olukisa lwolina eri bwiino wo :
Wansi w’eteeka ly’okukuuma bwiino, olina enkisa nga:
- Olukisa lwo okutegeezebwa – olina olukisa okutegeezebwa bwiino wo ki atwalibwa, akozesebwa atya , anakuumibwa kumala bbanga ki , era oba anagabanibwa na baani
- Olukisa olw’okufuna – olina olukisa olw’okusaba kkopi ku bwiino w’ebikukwatako
- Olukisa lw’okutereeza – olina olukisa okutusaba okutereeza bwiino oyo gw’olowooza nti takwatagana bulungi oba ssi mujjuvu
- Olukisa lw’okusangula – olina olukisa lw’okutusaba okusangula bwiino w’ebikukwatako mu biseera ebimu
- Olukisa olukugira okukozesa – olina olukisa lw’okutusaba tukugire nkozesa ya bwiino wo mu biseera ebimu
- Olukisa okugaana okukozesa – olina olukisa okugaana bwiino w’ebikukwatako okukozesebwa mu biseera ebimu.
- Olukisa lwa bwiino wo okutambuzibwa – olina olukisa okutusaba tutambuze bwiino w’ebikukwatako mu bitongole ebirala , gyoli , mu biseera ebimu
- Olukisa okumanya ku kubbibwa kwa bwiino – olina olukisa okutegezebwa kukubibwa kwonna okwa bwiino ow’ebyobulamu bwo.
Tewetaagibwa kusasula kwonna okw’okussa mu nkola enkisa zo. Bw’okola okusaba kwo , tulina omwezi gumu okukuddamu.
Mwattu tutukirire nga otusanga wano, bw’oba oyagala kusaba:
The Max Foundation
1448 NW Market St.
Suite 500
Seattle, WA 98107
+1 (206) 778-8660
info@themaxfoundation.org